Amawulire

Onebbe taleteddwa mu kooti

Onebbe taleteddwa mu kooti

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Omutandisi wa kampuni yobwannayini enkuumi eya Pentagon Security Francis Onebe amakya ga leero taleteddwa mu kooti, nga bwabadde assuburwa.

Okusinziira ku kalaani wa kooti ye Makindye Sarah Ann Basemera agambye nti omulamuzi tabaddeewo era nomusango guno tegwatereddwa mu gibadde girina okuwulirwa mu kooti eno olwaleero.

Onebe, owemyaka 63 avunanibwa okutta mukyala we Immaculate Onebe ngoludda oluwaabi lugamba nti obutemu bwali mu maka gaabwe e Makindye mu Mawanga Zone, e Buziga.

Avunanibwa nomukuumi Bonny Oriekot owemyaka 26 nga naye akolera mu kitongole kya Pentagon Security.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Lydia Nakato lugamba nti bano emisango baajizza mu January womwaka guno 2021, ngomukyala omulambo gwe gwasangibwa mu kinnya kyakzambi oluvanyuma.

Omugenzi yeyali nanyini kitongole kino ekikuumi, wabulanga omwami yoomu ku baakitandika.

Omuvunaanwa Onebbe kati ali ku aliamnda mu kkomera lye Kitalya.