Amawulire

Omwezi Tegulabise-Okusiiba kwa’Lwa’mukaaga

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2017

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omwezi tegulabise, nga bwekibadde kisubirwa akawungeezi ka leero.

Kati okusinziira ku mawulire agavudde ku kitebbe kyobuyisiraamu ku kasozi Kampala Mukadde, kikakasiddwa nti Okusiiba mu Mwezi Omutukuvu kwakutandika ku lunnaku Lwomukaaga.

Omwogezi wekitebbe kyobuyisraamu Hajji Nsereko Mutumba ategezezza nti ekiwandiiko ekivudde ewakulira Sahria, Sheik Ibrahim Kakungulu, omwezi tegulabise.

Kati ngenkola nkola yomubaka nabbi Muhammad bweyali abayisraamu mu mwezi omutukuvu bajjukizibwa okusiiba nga tebalya.

Mungeri yeemu abayisiraamu bajjukiziddwa obutekwasa mbeera yebyenfuna embi obutasiiba.

Supreme Mufti sheikh Sliman Kasule Ndirangwa agambye nti kino tekirizibwa mu diini.

Bino webijidde ngebbeyi yebintu naddala ebyetagisa mu kutandika ekisiibo okuli ebyokulya ebyokunywa ssukaali nebiraalal.

Sheikh Ndirangwa ngaubiriza absiraamu obutebalama kusiiba, naye wano wasabidde government okukendeeza ku musolo ku bintu bino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *