Amawulire

Omw’emyaka 3 attiddwa mu bukambwe

Omw’emyaka 3 attiddwa mu bukambwe

Ivan Ssenabulya

December 29th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi ye Nagalama etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku muwala owemyaka 3 Mary Nakyanzi.

Bino byabadde ku kyalo Nakifuma mu disitulikiti ye Mukono nga kigambibwa, omusajja Richard Musisi yamukakanyeko namutema ebiso ebyamusse.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakesezza olunnaku lweggulo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti omusajja ono yewaddeyo mu mikono gya poliisi nayenga babadde bamutaddek omuyiggo.

Omukwata tanayogera ekigendererwa kye kyabadde ki, okutemula omwana ono, wabula yatutte poliisi mu lusuku gyeyamutidde.

Kati waliwo sampo z’omusaayi ezitwaliddwa mu kkebejo lya gavumenti erye Wandegeya era okunonyereza kutandise.