Amawulire

Omwana w’omwami Kulubya afudde

Omwana w’omwami Kulubya afudde

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omusubuzi ow’erinnya Eng John Ssenseko Kulubya abadde amanyiddwa nga ‘Omwana w’omwami’ afudde.

Ono afiridde ku ddwaliro lya Case clinic mu Kampala ku myaka 84 oluvanyuma lw’ekimebe ekibadde kimugoya okumala ebbenga.

Omugenzi yoomu ku baggaga abalina ettaka n’ebizimbe mu gwanga nga ye jajja wa minister ow’ebyobusubuzi amakolero nobwegassi Amelia Kyambadde.

Ono mu mwaka gwa 2006, yavuganyako kubwa meeya wa Kampala wabula nawangulwa Al-haji Nasser Ntege Ssebaggala.

Kati Alhaj Ssebaggala aygedder ku mugenzi Kulubya, ngomu ku banan-Uganda ababadde abakozi ennyo.