Amawulire

Omwana owemyezi 3 afiiridde mu muliro

Omwana owemyezi 3 afiiridde mu muliro

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Poliisi mu disitulikiti ye Namisindwa etandise okunonyereza ku maama eyasibidde omwana owemyezi 3 munju nafiira mu nnambabula wómuliro ogwakutte enyumba.

Omugenzi ye Robina Misheru ngóno yafiiridde mu mu muliro ogwakutte enju nnyina mweyalese amusibidde

Kigambibwa nti omukyala ono yalese sigiri munju nga afumba ebijanjalo nagenda okugula empeke zomwana omulala eyabadde omulwadde yagenze okudda ngomwana afudde kwe kumalamu omusubi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu ekya Elgon Rogers Taitika akakasiza enjege eno nategeeza nti okunonyereza ku mayitire ga maama kutandise.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *