Amawulire

Omwana owemyaka 7 asse kitaawe

Omwana owemyaka 7 asse kitaawe

Ivan Ssenabulya

January 3rd, 2023

No comments

Bya Santo Ojok

Omulenzi ow’emyaka 17 asse kitaawe mu butategeeragana obubaluseewo nga bali mu ndogo wakati mu kwaniriza omwaka omuggya mu Disitulikiti y’e Kwania.

Kigambibwa nti omuvubuka ono yasaze kitaawe Tonny Okwir 38, emirundi egiwera ng’akozesa ekiso.

Bino bibaddewo oluvannyuma lw’omugenzi eyabadde atamidde okugezaako okutta omwana ng’akozesa ekiso kye kimu.

Omugenzi nga mutuuze ku kyalo Alik-Ipiny, mugombolola ye Inomo mu Disitulikiti y’e Kwania, yasoose kuddusiddwa mu ddwaaliro ly’obwannannyini mu kibuga Aduku Town Council okufuna obujjanjabiwabula yagenze okutuusibwa nga mufu.

Omumyuka womubaka wa gavt mu disitulikiti eyo Jacob Jonga, avumiridde ekikolwa kino, n’alaajanira abazadde okwewa ekitiibwa.