Amawulire

Omwana omuwala yetaaga okukumibwa

Omwana omuwala yetaaga okukumibwa

Ivan Ssenabulya

October 12th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ebitongole byobwanakyewa biraze obwetaavu, okufuula amsomero ebifo ebyeyagaza nobukuumi obumala eri omwana omuwala.

Alipoota ezenjawulo zizze ziraga engeri abaana abawala gyebatulugunyizibwamu ku masomero, okuli okubasobako, okubattikka embuto nabamu nebawanduka mu kusoma.

Omulanga guno gwazze, Uganda bweyabadde yegasse kunsi yonna okukuza olunnaku lomwana omuwala, International Day of the Girl Child.

Akulira emirimu ku kitongole kya Rising Voices, Yvone Laruni agambye nti olunnaku luno lutekawo omwagaanya okufumintiriza ku bizibu abawala byebayitamu, nokubinogera eddagala.

Kati agambye nti ngojeeko okukuza olunnaku luno, kikulu nnyo okulwana okutekawo obukuumi obumala eri abaana ku masomero.

Ye ssenkulu wekitongole kya Centre for Domestic Violence Prevention Tina Musuya alaze okutya ku kusomozebwa okwajira mu kusoma okwokumitimbagano.

Olunnaku luno lwavugidde ku mubala “Digital Generation, Our Generation”