Amawulire

Omwana omuto yetuze

Ali Mivule

January 28th, 2014

No comments

man hangs self

Omwana ow’emyaka omwenda yesse ng’atya okubonerezebwa.

Isma Gabula nga mutuuze we Kasubi yeeyeyimbyemu ogwa kabugu oluvanyuma lw’okubba sente zanyina omuto.

Nyina ategerekese nga Aida Nabaggala nga ssente bazimulekedde kugulamu mmere.

Okusinzira ku OC we Kasubi William Ngabirano omwana asangidwa mu nyumba ya neyiba ategerekeseeko erya Lukwago ng’alengejjera ku muguwa

Omulambo gw’omwana ono gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwongera okwekebejjebwa.