Amawulire

Omwana eyawambiddwa attiddwa olwa bazadde okulemererwa okusasula abawambi

Omwana eyawambiddwa attiddwa olwa bazadde okulemererwa okusasula abawambi

Ivan Ssenabulya

January 2nd, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omulenzi ow’emyaka 7 attiddwa omusajja eyamuwamba oluvanyuma lwa bazzade okulemererwa okumuwa obukadde 7 bweyasabye amubaddize nga mulamu.

Bino biri ku kyalo Bulungu mu tawuni kanso y’e Namwendwa e Kamuli.

Charles Musumba omutuuze mu kitundu kino agamba nti ateeberezebwa okuwamba omwana yalonzeyamututte lunaku lweggulo bweyabadde azannya ne banne.

omugenzi ye John Waiswa mutabani wa Robert Mawedi omutuuze ku kyalo kyekimu.

Musumba agamba nti omulambo gwa Waiswa gwasangiddwa nga gusibiddwa emikono n’amagulu mu nnimiro y’omuwemba.

Ategeezezza nti omutemu yasoose kuwa ssente abaana bonna abaabadde bazannya n’omugenzi n’abasaba okudda eka ate omugenzi namulagira okulinnya pikipiki beeyongereyo.

Kitegerekese nti olwatuuse eyo nakubira abazadde nabasaba ensimbi obukadde 7 nga tebazirina kwekutta omuwambe.