Amawulire

Omwana eyatulugunyizibwa atwaliddwa e Mulago

Ali Mivule

November 27th, 2014

No comments

Tortured baby

Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku mwana agambibwa okutulugunyizibwa omukozi w’awaka.

Omwana ono olwaleero atwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa okulaba obuvune bweyafuna

Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira akakasizza nti omwana ono abaddeko e Mulago era nebamwekebejja .

Omwana ayogerwaako yeeyalabikira mu katambi ng’atulugunyizibwa omukozi w’awaka eyatuuka n’okumulinnya ku mugongo n’amulanga kugaana kulya mmere

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti nga poliisi babadde tebekebejjanga mwana ono nga y’ensonga lwaki leero bakikoze