Amawulire

Omwana  eyasobya ku we myaka 2 wakuvunanibwa

Omwana eyasobya ku we myaka 2 wakuvunanibwa

Bernard Kateregga

August 27th, 2015

No comments

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda

Kkooti enkulu wano mu Kampala eragidde ekkomera ly’abaana e Naguru okuleeta omu ku baana gwebalina avunanibwe ogw’okusobya ku muwere ow’emyaka 2.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi wa kkooti enkulu Joseph Mulangira.
Omwana ono kati ow’emyaka 16 kigambibwa nti y’asobya ku munne nga alina emyaka 9 wali mu zooni ye Ggangu e Makindye.

Ono abadde ku alimanda okuviira ddala mu8 2008.
Omulamuzi Mulangira ayisizza ekibaluwa ekitumya omwana ono avunanibwa nga 1 September.