Amawulire

Omwana eyakakasiddwa okubeera N’Ebola afudde

Omwana eyakakasiddwa okubeera N’Ebola afudde

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Ritah Kemigisa

Omwana omuwala ow’emyaka 9 munnansi wa Democratic Republica ya Congo eyakakasiddwa okubeera ne Ebola mu district ye Kasasse afudde.

Omwogezi wa ministry y’ebyobulamu Emmanuel Ainebyona, atagezezza ng’omwana ono bwafudde, bwebabadde bakola ku ntekateeka okumuzaayo okwabwe.

Minisita omubeezi owebyobulamu Dr. Joyce Kaducu yagambye nti omwana nono yayingira ne maama we mu Uganda ku Lwokusattu lwa wiiki eno, okuyita e Mpondwe nebagenda mu ddwaliro e Bwera, mu district ye Kasese okufuna obujanjabi.

Mungeri yeemu ekitongole kya Uganda Redcross kiraze okutya nate, olwokubalukawo kwekirwadde kya Ebola.

Omwogezi wekitingole kino Irene Nakasiita agambye nti bongedde amaanyi, mu kulondoola ekitundu kino, okwewal Ebol okusasaana nemu bitundu ebirala.

Bino webijidde ngaabantu abakfa Ebola kumulirwaano mu gwnaga lya Congo, gulinnyeokutuuka ku bantu 3,000.