Amawulire

Omwana eyabbibbwa mu maka ga bazaddebe attiddwa

Omwana eyabbibbwa mu maka ga bazaddebe attiddwa

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu disitulikiti y’e Namayingo ezudde omulambo gw’omwana ow’emyaka 4 eyabula ku bazaddebe ku ntandikwa y’omwezi guno.

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Namayingo, James Kakana ategeezeza nti omugenzi ye Rahma Nalubega muwala wa Yasin Muwanguzi omutuuze w’e Namayunju wakati mu tawuni kanso y’e Namayingo.

Kakana ategeezezza nti Nalubega yabbibbwa mu maka g’abazadde mu kiro ekyakeesa nga March 7 abasajja bebatamanyi ne batandika okubasaba sente okumubaddiza.

Kakana agamba nti abazadde bwe balemeddwa okusindika ssente, omwana yattiddwa n’aziikibwa mu nnimiro y’ebijanjaalo omulambo gye guzuuliddwa.

Waliwo abateeberezebwa okuba ne kyebamanyi kutemu lino era poliisi yabatadeko obunyogoga.