Amawulire
Omwana attiddwa
Poliisi eriko omulambo gw’omwana omuwala ow’emyaka 14 gwezudde nga gusuuliddwa ku luguudo lwa Yusuf Lule amakya galeero.
Rehema Nassali nga muyizi ku ssomero lya Buganda road primary school kigambibwa nti y’asoose kusobezebwako abantu abatanategerekeka nga tebanamutta.
Taata w’omugenzi ategezezza nga bwayitiddwa bukubirire okuva mu maka ge e Katanga amakya galeero oluvanyuma lwomu ku baliraanwa okulaba omulambo gwa muwalawe.
Agamba muwalawe ono abadde asoma kibiina kyakuna nga era abadde atambuza amenvu ku luguudo lwa yusuf Lule nga nga avudde kussomero wabula kuluno agasajja gakalittima gamukkakanyeko negamutta nga gamaze okumusobyako.
Abantu abakunganidde ewaabadde ettemu lino bategezezza nga oluguudo luno bwekutali bulungi mataala kale nga abakozi b’ebikolobero banguyirwa okutuukiriza enteekateekazaabwe.