Amawulire

Omwana asirikkidde mu muliro

Ali Mivule

August 11th, 2014

No comments

fire najja

Poliisi ye Kibuye ekyanonyereza ku kyavuddeko omuliro ogwakutte enyumba negutta omwana ow’emyaka 2 eyalekeddwa bazaddebe mu nyumba.

Omugenzi ategerekese nga  Josephat Mundwe nga nzaalwa ya Congo.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba tebanazuula kyavuddeko muliro guno nga n’abazadde b’omwana ono kati baliira ku nsiko wabula singa bakwatibwa bakuvunanibwa gwakulagajalira mwana.

Mungeri yeemu poliisi era ekyanonyereza ku kufa kw’omusajja zikusooka Edie e kiwanga mu disitulikiti ye Mukono omulambo gwe nga gusuuliddwa ku kkubo.

Kigambibwa nti Zikusooka alina makanika gweyava naye ewaka mu mmotoka nga yyo emmotoka yasangiddwa nga esuuliddwa e Bajja .

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba bakyanoonya makanika ono kubanga bamusuubiriza okuba nga aliko kyamanyi ku butemu buno.