Amawulire

Omwana akubiddwa Laddu naafa

Omwana akubiddwa Laddu naafa

Ivan Ssenabulya

September 16th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omuntu omu akakasiddwa okuba nti afudde ate abalala basatu ne balumizibwa oluvannyuma lw’okukubwa Laddu mu disitulikiti y’e Buyende.

Bino bibadde ku kyalo Budubi mu gombolola ye Bugaya mu disitulikiti y’e Buyende.

Ssentebe wa LC2, Joseph Kitawu agamba nti baana begamye enkuba eyabadde efudemba mu kifulukwa kya Godfrey Nambogo omu omutuuze ku kyalo Budubi Laddu gyeyabasanze nettako omu.

omugenzi kitegerekese nti ye Joyce Nakibira.

Ab’obuyinza bawadde bannansi amagezi okubeera obulindaala naddala mu kiseera kino eky’enkuba.