Amawulire

Omwana akaabizza abantu

Ali Mivule

October 31st, 2014

No comments

Children at an aold structure for a sch

Omwana ow’emyaka omwenda akaabizza abantu bweyegayiridde poliisi obutayimbulwa nyina omuto eyaggalirwa olw’okumutulugunya.

Maama w’omwana ono Lucy Atiang okuggalirwa yasooka kwokya mwana ono ng’amulanga kubba nva za kyenyanja zebaali bafumbye.

Omwana ono agamba nti kitaawe yafa emyaka esatu emabega kyokka g’okuva olwo nyina amutulugunya era nga gujagabira buli lw’agenda okunywa n’akomawo

Omwana ono agamba nti ssiyeeyali abbye enva nga mwanyina omuto yeeyakikola kyokka nga nyina yakubamu yye okukkakkana ng’amwokyezza engalo.

Wabula omukyala ono agambye nti nnaku y’emukozesa bino ng’oluusi kimuyitirirako nga tasobola kulabirira baana olwo n’afuna akasunguyira

Atwala ofiisi ekola ku nsonag z’amaka mu disitulikiti ye Ngora awali bino Florence Adeke agambye nti omukyala ono agenda kuggulwakao misango gyakutulugunya mwana nga bwebayiiya awatuufu w’okutwala omwana ono