Amawulire

Omwana afiiridde mu muliro, bana bataawa

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

House on Fire fresh

Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kirumba Rakai, omwana bw’asirikkidde mu muliro ogukutte enyumba

Omwana afudde abadde wa myezi ena.

Kigambibwa okuba nti maama w’omwana ono jane Namanda akolezezza ekibiriiti kyokka akasigaddewo n’akakasuka nekakwata mpola nga tategedde

Erikka eribadde lifuluma mu nyumba lyelizuukusizza omukyala ono gy’abadde kyokka nga tasobodde kutaasa mwana

Omuwandiisi w’ekyaalo Secretary Gerald Juuko agambye nti babadde tebasobola kutaasa mwana olw’erikka erisukkiridde.

Ate okuddako e Kamwokya, omuliro ogukutte enyumba gulese abaana basatu ne kitaabwe n’ebisago ebyamaanyi.

Abayidde bategerekese nga Tabu Kasambula ng’ono ye taata n’abaana abali wakati w’emyaka 10 n’etaano.

Ab’enganda zaabwe bategeezezza nga bano bweberabidde akasubbaawa kwebabadde basomera ebitabo mu ntebe nezikwata omuliro.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *