Amawulire

Omwaka gwa 2018 gw’akujjaguza mu Buganda.

Ivan Ssenabulya

January 22nd, 2018

No comments

Ssebuliba Samuel.

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Mutebi 11 alangiridde nga omwaka guno 2018 bweguli omwaka ogw’okujaguzza wano mu buganda, nga kino kivudde ku kyakuba nti guno omwaka mwagenda oguwereza emyaka 25 nga atudde ku namulondo.

Bwabadde atuusa obubaka bwa ssabasajja kabaka mu lukiiko wano e mengo, katikiro wa Buganda Charlse peter Mayega agambye nti entekateeka zamatikira gano ssabasajja kabaka yaziwadde bavubuka.

Ono agamba nti ssabasajja kino yakoze olwokwala okuwa abavubuka ekifo ekyenkizo mu bwabakaba bwa Buganda nokwongera okulaga omugaso gwebalina mu nkulakulana ya Buganda.

Sound: Katikiro ku kujaguzza—–lug