Amawulire

Omwaka guweze oluvanyuma lw’obwegugungo bwa Novemba 2020

Omwaka guweze oluvanyuma lw’obwegugungo bwa Novemba 2020

Ivan Ssenabulya

November 18th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Olwaleero, omwaka guweze mulamba, olukuva abantu abasoba mu makumi 50 bafiira mu bwegugungo obwabuna egwanga lyonna, obwaliwo nga 18 nenkeera waalwo nga 19 Novemba mu mwaka gwa 2020.

Abantu batanula okwegugunga, oluvanyuma lwokukwatibwa kwakulembera ekibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi bweyali anoonya akalulu mu disitulikiti ye Luuka.

Kati bannamateeka wansi wekibiina Network of Public Interest Lawyers (NETPIL) batanudde okubanja nti gavumenti efulumye alipoota ekwata ku nfa yabantu, nokukakasa nti ba ssalumanya bafuna obwenkanya.

Arthur Nsereko ye mukwanaganya wemirimu ku kibiina kyabannamateeka bano.

Omwogezi wa poliisi Fred Enanga gyebuvuddeko yagambye nti bakyalinze alipoota okuva mu bakugu, oluvanyuma entekateeka zikolebwe okuliyirira abantu.