Amawulire
Omuyizi eyawangula obwa kansala taata agaanye okumuwa fiizi
Bya Ivan Ssenabulya
Omuyizzi owa S.5 ku ssomero lya St. Balikuddembe-Kisoga e Mukono, Amos Wambedde, owemyaka 19 eyawnagula obwa kansala asobeddwa oluvanyum lwa mzadde we okugaana okumuwa fiizi.
Ono yawnagula obwa kansala okukirirra omuluka gwe Mugomba ku gomboloola ye Mpatta, wabula agamba nti kitaawe Moses Madanda agaanye okumwongera ebisale bye ssomero ngagaba nti akuze yerabirire.
Ono addukidde mu wofiisi ya Ssentebe wa disitulikiti ngasaba buyambi, kubanga banne baddamu dda okusoma naye yye akyatudde waka.
Wabula taata wo’mwana ono ategezezza nti omwana ono yamuwa dda buli ekyetagida era nawakanya ebyogerwa.