Amawulire

Omuyaga gukubye abé Mukono bagala buyambi

Omuyaga gukubye abé Mukono bagala buyambi

Ivan Ssenabulya

September 18th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Abatuuze ku kyalo Ggobero ku Nnyanja Nalubaale mu ggombolola ye Mpatta mu disitulikiti ye Mukono ennaku ebolekedde, oluvannyuma lw’okukubibwa embuyaga emanyiddwa ng’Ensoke.

Abatuuze bagamba nti omuyaga guno gutera kugwa mu biseera eby’enkuba naye ku mulundi guno gwazze ku musana, era babadde tebagwetegekedde.

Abatuuze abakoseddwa batubuulidde engeri gyegwabakubyemu ebyabwe nebisigala ku ttaka.

Ssentebbe wekyalo kino Kyebuzibwa Mubalak ngali namyuka Ssentebe w’eggombolola ye Mpatta Yakobo Kkunya balaajanidde gavumenti okubadduukirira nobuyambi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *