Amawulire

Omuyaga gamumyukidde mu Kkooti

Omuyaga gamumyukidde mu Kkooti

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omutuuze agambibwa okusangibwa n’emisokoto j’enjaga gamumyuuse ng’atwalibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira.

Mahad Ssekadde owe myaka 28 nga mutuuze we Bukoto mu Gombolola ye Nakawa wano mu Kampala asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku City Hall Edgar Karakire amusomedde omusango nagwegaana.

Oluvanyuma lw’okwegaana omusango omulamuzi amusindise mu kkomera e Luzira ajira yebakayo okumala Sabiiti biri.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Timothy Aduti lugamba nga ennaku z’omwezi ttaano August 2022 mu Katende zone Bukoto yasangibwa n’akaveera akadugavu nga kalimu emisokoto jenjaga 17 ekintu ekimenya semateeka afuga ebiragalalagala eyafulumizibwa mu 2016.