Amawulire

Omuwendo gwabavubuka wansi wemyaka 18 gwakweyongera

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Waliwo alipoota efulumiziddwa abekitongole ekya UNICEF ekikola ku byabaana eraze nti wegunakonera omwaka 2030 ng’omuwendo gw’abaana abali wansi we myaka 18 gulinye okutuuka ku bu bukadde 170 , olwo bawere obukadde 750 .

Alipoota eno araga nti Africa yetaaga okuteeka ensimbi nyingi  mu byobulamu, ebyenjigiriza, kko nokutatira edembe ly’abakyala.

Leila Pakkala, nga y’emukwanaganya wa  UNICEF mu buvanjuba kko namaserebngeta ga Africa agambye nt ekitundu kino kigwana  okuwandiika abasawo abalala  obukadde 5.6 , abasomesa abalala 5.8  wegunakonera omwaka 2030  okusobola okufa ku baana bano abgenda okweyongera.

Ono agamba  nti singa engeri gyetuzalamu tekendeere wegunakonera omwaka 2055 nga abaana abali wansi we myaka 18 baweze akawumbi kalamba.