Amawulire

Omuwendo gwábalwadde be Ebola mu kampala guli ku bantu 14

Omuwendo gwábalwadde be Ebola mu kampala guli ku bantu 14

Ivan Ssenabulya

October 24th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ministry y’eby’obulamu etegeezezza nga omuwendo gw’abantu abakakasiddwa okubeera n’ekilwadde ki Ebola mu kibuga Kampala bwegweyongedde nga wetwogerera baweze 14 mu saawa 48 eziyise.

Minister w’eby’obulamu Dr Jane Ruth Aceng ategeezezza nga  bwekiddiridde abantu abalala mwenda okusangibwa nekilwadde kino ekya Ebola.

Aceng agamba nti bano baalina akakwate n’omuntu eyafa mu dwaliro e Mulago gyebuvuddeko eyava mu district y’e Kassanda.

Agamba nti 7 ku bano 09 ba maka gamu wali e Masanafu gattako n’omusawo eyabakolako ku kalwaliro okwonga kwotadde n’omukyaala w’omusawo asangibwa e Seguku.

Kati Minister ayagala banna Uganda okusigala nga bagendereza nga bakolaganira wamu ne Gavumenti nga betwala mu malwaliro singa bamanya nti babaddeko ku lusegere lw’abantu abasangiddwa ne Ebola.

Webutuukidde nga 22/10, Uganda ebadde erina abantu 75 abakakasiddwa okukwatibwa Ebola.

Ku bano 28 bakakasiddwa okufa okuva ekilwadde kino lwekyabalukawo mu district y’e Mubende mu mweezi gw’omwenda omwaka guno.

Ebibalo okuva mu Ministry y’eby’obulamu bilaga nti ekifo e Mulago awateekebwa abateberezebwa okubeera n’obubonero kirina abantu 60 abakakasiddwa okubeera n’ekilwadde kino.