Amawulire

Omuwendo gwábalina Ebola gutuuse ku bantu 7

Omuwendo gwábalina Ebola gutuuse ku bantu 7

Ivan Ssenabulya

September 22nd, 2022

No comments

Bya Nalwooga,

Omuwendo gw’abantu abakakasibwa nti balina obulwadde bwa Ebola kati gulinnye okutuuka ku 7.

Bino bitegeezeddwa Dr Henry Bbosa akwasaganya obulwadde bwa Ebola mu minisitule y’ebyobulamu mu lukung’aana lw’eby’ekikugu.

Agamba nti n’okutuusa kati abakugu mu byobulamu, nga bakolagana n’abakugu mu ekibiina ky’ebyobulamu ekyensi yonna basobodde okulondoola abantu 43 abateberezebwa okubeerako na balina obbulwadde buno.

Abantu abalala abawerako bali mukunonyerezebwako era abasawo batadewo ekifo mugombolola ye Madudu mu disitulikiti y’e Mubende awagenda okwawulibwa abalwadde.

Ayongedeko nti batandise okunyunyuula ebiragiro okulaba nti obulwadde tebusasaana.

Olukungaana lw’abakugu luno lugendereddwamu okuwangana amagezi ku kirwadde kino.

Ekirwadde kya Ebola kyalangiriddwa mu Uganda kuntandikwa ya wiiki eno oluvannyuma lw’okuzuulibwa nga waliwo omulwadde mu disitulikiti y’e Mubende.