Amawulire

Omuwendo gwábakyala abafa nga bazaala gwóngedde okukendeera

Omuwendo gwábakyala abafa nga bazaala gwóngedde okukendeera

Ivan Ssenabulya

September 8th, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye,

Abakugu mu by’obulamu balina essuubi nti embeera yábakyala okufiira mussanya yakwongera okukendeera singa bamaama abazaala beeyongera okunoonya obuweereza bw’okulabirirwa nga bafunye embuto.

Alipoota ekwata ku byobulamu bya bannauganda eya Uganda Demographic and Health Survey (UDHS) eyomwaka 2022 eyafulumiziddwa ekitongole ekivunanyizibwa ku kubala ekya Uganda Bureau of Statistics yalaze wabadewo okwongera okukendeera kya bakyala abafa nga bazaala nga ku bakyala emitwalo 10 abazaala kati 189 bokka beebafa omwaka oguwedde okuva ku bakyala 336 ku mitwalo 10 abaafa mu 2016.

Dr.Nicolas Mugaga, omukugu okuva ku ddwaliro lya St. Joseph Hospital e Wakiso, akubiriza bamaama okwetanira okugenda kwa antinental nga bafunye embuto okwewala ne ndwadde ezikwata abaana olwobutafibwako nga bali mu lubuto