Amawulire

Omuwendo gwábafudde mu bulumbaganyi e Kasese gutuuse ku 43

Omuwendo gwábafudde mu bulumbaganyi e Kasese gutuuse ku 43

Ivan Ssenabulya

June 21st, 2023

No comments

Bya Joel Kaguta,

Omuwendo gw’abantu abafudde oluvanyuma lwobulumbaganyi bwa abayekera ba ADF ku ssomero e Kasese gulinnye okutuuka ku bantu 43.

Kino kiddiridde Felestus Mbambu omu ku bantu abaafuna ebisago mu bulumbagnyi buno okufa akawungeezi akayise.

Omukyala ono n’abalala 6 batwaliddwa mu ddwaaliro lya gavumenti e Bwera ku Lwomukaaga ku makya nga bali mbeera mbi.

Yasangibbwa agalamidde ng’azirise era ng’avaamu omusaayi mungi mu lugya lwámakage.

Mbambu eyasooka okufiirwa bba, Zakayo Duduma Masereka ne nnyazaala we Florence Masika mu bulumbaganyi buno, abadde mu ddwaaliro e Bwera mu Intensive Care Unit.

Clarence Bwambale, akulira eddwaliro lino agamba nti Mbambu abagamba nti abantu 3 kati bebakafiira mu ddwaliro lino abajja ne bisago.

Kati basigaza omulwadde omu yekka, Mumbere ow’emyaka 18 nga yakubbwa amasasi mu ngalo abayeekera ba ADF era embeera ye ey’obulamu egenda etereera buli lukya.