Amawulire

Omuwandiisi wákakiiko akagaba e mirimu e Bugiri akwatiddwa

Omuwandiisi wákakiiko akagaba e mirimu e Bugiri akwatiddwa

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omuwandiisi w’akakiiko akavunanyizibwa kukugaba emirimu mu disitulikiti yé Bugiri Wilson Kabweru akwatiddwa ku bigambibwa nti yeenyigira mu nguzi.

Kabweru yakwatiddwa ttiimu ya state house erwanyisa enguzi ekulirwa Mpata Owagage.

Owagage agamba nti Kabweru abadde ayamba abantu okufuna emirimu local gavt nga tebalina mpapula ezeetaagisa.

Anokodeyo ekyókuyamba abakozi b’eddwaliro ly’e Bugiri okufuna emirimu nga tebalina bisaanyizo.

Owagage agambye nti Kabweru yatwalibwa dda mu kkooti e Bugiri eyamusindika mu kkomera ku limanda.