Amawulire

Omuwala asindikibwa mukomera lwa Butemu

Omuwala asindikibwa mukomera lwa Butemu

Ivan Ssenabulya

October 24th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omuwala owemyaka makumi 25 asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwa butemu.

Amoit Lillian asbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e nkulu mu Kampala Rosette Comfort Kania amusomedde omusango gw’obuttemu wamu nokutulugunya omuntu nga tamutta najjegaana.

Wabula oluvanyuma lwokwegaana emisango omulamuzi alagidde adizibwe mu kkomera e Luzira okutuusa November 15th 2023 lwanadizibwa emisango jitandike okuwulirwa.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Moreen Tusiime lutegezezza kkooti nti nga December 28th 2020 , Amoit n’abalala abatanakwatibwa Eastern End Pub Kasokoso Kireka batta Isma Mukasa oluvanyuma lwokumutulugunya.