Amawulire

Omuvunanwa omukulu mu musango gwókutta Kirumira agibbwako emisango

Omuvunanwa omukulu mu musango gwókutta Kirumira agibbwako emisango

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abubaker Karungi abadde avunaanibwa okutta omuserikale wa poliisi Mohammed Kirumira ne mukwano gwe, Resty Mbabazi Nnaalinya, kkooti enkulu mu Kampala emugyeko emisango.

Omulamuzi Margaret Mutonyi akkiriziganyizza ne Kalungi nti yakakibwa okuteeka omukono gwe ku kiwandiiko ekiraga nti yeyatta ate nga kyali kiwandikibwa mu Luzungu lwatanyi era teyategeera byeyateekako omukono kyebyali bigamba olwokukakibwa nókutulugunyizibwa okwamukolebwako.

Omulamuzi agobye nóbujjulizi bwa poliisi obulaga nti omuvunanwa bamunyonyola ebiri mu kiwandiiko

Omulamuzi era agamba nti ku bajjulizi 16 abaleetebwa mu kkooti tewali nomu yalaba nga Kalungi atta omugenzi Kirumira.

Nga March 27th 2023 abawabuzi ba Kkooti babiri Jackline Nafula ne Jackie Nabuufu baawa kkooti amagezi eyimbule omukulu Kalungi ateeberezebwa okutta Kirumira olw’obutaba na bujulizi

baagamba nti oludda oluwaabi lwalemererwa okuleeta obujulizi obulaga nti Abubaker Karungi yaliko mu kifo Kirumira weyattibwa.

Oludda oluwaabi lwali lulumiriza nti nga September 8th 2018 mu katawuni ké Bulenga, omuwawaabirwa Abubaker Karungi yakuba Kirumira amasasi ne mukwano gwe omukyala Resty Mbabazi Nnaalinya.