Amawulire

Omuvunanwa omukulu mu gwa Nagirinya agobye omujjulizi wa Gavt

Omuvunanwa omukulu mu gwa Nagirinya agobye omujjulizi wa Gavt

Ivan Ssenabulya

March 29th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omuvunanwa omukulu mu jusango gwokutta omuwala Maria Nagirinya ne derevawe Ronald Kitayibwa, Compriyam Kasolo, agobye akulira bambega b’oludda oluwaabi mu kaguli bwabadde azze okumuwaako obujjulizi.

Detective Sgt Barasa James abadde aleetebwa ngomujjulizi owa 21 era asembayo owoludda oluwaabi wabula Kasolo nategeeza omulamuzi aguli mu mitambo, Isaac Muwata, nti wakukkiriza Barasa muwako bujjulizi nga teyasoose kuyita mu biwandiikobye kwalina okusinzira naye amusoye ebibuuzo.

Oluvannyuma omulamuzi Muwata akkiriza okwewozaako kwa Kasolo nategeeza oludda oluwaabi nti lulina okuwa Kasolo obudde okuyita mu alipoota ya Barasa asobole okwewozako.

Omulamuzi ayongezzaayo omusango guno okutuusa nga April 3rd 2023 okwongera okuwulirwa.

Kasolo avunaanibwa wamu n’abantu abalala 5 omusango gw’okuwamba n’okutta Nagirinya ne ddereevawe Ronald Kitayimbwa nga emirambo gyabwe gyasangiddwa nga gisuuliddwa mu Ttobazzi ku luguudo lw’e Mukono – Kayunga.