Amawulire
Omuvubuka agalidde abantu ennyumba najikumako omuliro
Bya Damalie Mukhaye
Police ye Butenga mu district ye Bukomansimbi etandise omuyigo ku muvubuka agalide abantu 7 munyumba najiyiwako petulooli najikubako omuliro yona nebengeya.
Ayigibwa ye Lubega Kawonawo nga ono mutuuze we Butanga mu gombolola ye Butenga,nga ono alumbye nazalawe Mukade Nakabugo Mariam owekyankoole,natandika omukanda awalirize muwalawe eyanoba adeyo mumaka nabaanababwe.
Nakabugo,muwalawe nabazukulu balabye omuko akaaye,kwekwegalira munju kyoka Lubega Kawonawo alabye bano begalide kwekuyiwa petulooli kunyumba mwebabade era najitekera omuliro.
Abadukirize nga bakulembedwamu Sozzi Joseph,bebatasiza abantu abo kyoka enyumba yonna ebengeye negwawo nga abajibademu 7 bo basimatuse nebisago ebyamaanyi nga abaana bo bazirise.
Ssentebe wabavubuka mu district ye Bukomansimbi Alex Ssekigude avumiride akyabavubuka okweyisa nga ensolo,nategeeza nti wakukolagana ne Police okutereeza abavubuka abeyisa