Amawulire

Omuvuba asse kitaawe lwa ttaka

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2017

No comments

Bya Malikh Fahad

Entiisa ebutikidde abatuuze mu ggombolola ye Kiseeka mu district ye Lwengo, omuvubuka owemyaka 18 bwakidde kitaawe namutta.

Omugenzi ye Peter Katongole owemyaka 43, ngabadde mutuuze we Kyasonko mu gombolola yeemu.

Omuvubuka ono poliisi emumenye nga John Ssemujju, nga bakaksizza nti  abali mu taano era wakuvunanwa.

Okunonyereza kwa poliisi kulaga nti ono yakubye kitaawe akakumbi ku mutwe namutta, olwenkayana ze ttaka zebabaddemu.

Kigambibwa nti ono mu ktya oluvanyuma lwokuzuula nti asse kitaawe yaddukidde ku muliraano, nalimba nga bwebalumbiddwa abatamanga ngamba.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu, Lameck Kigozi ategezeza nti ono oluvanyuma lwokumukwata akirizza nti yasse kitaawe.

Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.