Amawulire

Omutuuze attiddwa mu ntiisa

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Waliwo  omutuuze atidwa muntiisa.

Hussein Ssekimuli omutuuze w’e Kasubi mu Zooni 4 omulambo gwe gusangiddwa mu muzigo gw’abadde yaakamalamu ennaku bbiri banne bwebabadde bakola.

Wabula amakya ga leero banne b’abadde akola nabo e Nakulabye mu saloon bwebaludde nga tebamulaba nga n’eggulo teyakoze bakubye ku ssimu ye nga teriiko emitima negyewanika.

Omulambo gwa Ssekimuli guggyiddwawo poliisi negutwalibwa mu gwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa.

Poliisi egaanyi okubaako ky’eyogera ku nsonga eno kyokka ye Ssentebe wa LC mu kitundu kino, Kasule Mukiise avumiridde ekikolwa ky’abasajja okumala gaganza bakazi ne babeesiga mu bwangu okutuuka n’okusula nabo kuba kyandiba ng’ettemu lino lyamukoleddwaako abakyala bano ne bamala ne badduka n’asaba poliisi ekole okunoonyereza mangu bazuule abaamusse.