Amawulire

Omuti gukubye omusajja nafa

Omuti gukubye omusajja nafa

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Ensasagge egudde mu b’oluganda omuti gwegukubye omuntu waabwe nafa.

Omugenzi ye Lawrence Ssozi ngabadde aweza emyaka 48, ngabadde mutuuze ku kyalo Ndugu-Mpambire mu district ye y’e Mpigi.

Okusinziira muganda womugenzi Ssaalongo Ben Ssozi, abadde agenze kusennya nku mu kibira kye Mpanga, omuti gyegumusanze negumukuba nafa.

Kitegezeddwa nti abekitongole kyebibira mu gwanga bababadde bakirizza abantu okuggya enku mu bibira bya gavumenti e Mpigi buli Lwakusattu ne Sunday, ngomusajja ono naye ababdde agenze kwefunira ku nku.

Poliisi ng’ekulembeddwamu ajiduumira mu district eno Joab Wabwire, eggyewo omulambo negutwalibwa mu gwanika ly’eddwaliro e Mulago okwongera okugwekebejja.