Amawulire
Omutembeeyi w’akumala emyaka 37 mu nkomyo
Bya Ruth Anderah, Omutembeeyi ow’emyaka 37 asindikidwa kw’alimanda e Luzira akulunguleyo emyaka 47 lwa bunyazi.
John Ssemanda asindikidwa kwalimnda omulamuzi wa kooti enkulu Elizabeth Kabanda oluvanyuma lwokwekenenya obujulizi obwaweredwayo oludda oluwaabi nabwetyo nekyoyoleka nga Ssemanda nga bwali omubbi.
Omulamuzi Kabanda ategezezza nti ekibonerezo ekimuweredwa kyakumuwa ssomo nabalala obutagezaako kwenyigira mu bubi
Omulamuzi mungeri yemu ategezeza nti ssemanda wa mpisa nsiwufu kuba okuyita mu kuwoza omusango guno abadde alina eriiso lya kuba omulamuzi eritali ddungi
Kigambibwa nti mu mwaka gwa 2016 ssemanda yapangisa emotoka mbu agende anone omulwadde e Kaboja amutwale e rubaga mu ddwaliro wabula bwe batuuka mu kkubo namunanika omuguwa mu bulago natandika okumutuga wabula ono mukama yamuwonya teyafa newankubadde nga emmotokaye ssemanda yakuulita nayo.