Amawulire

Omutanda agaddewo ttabameruka wabakyala

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Kijiddwa mu bikadde: Nakalema Jamiidah ngali ne Kabaka Mutebi

Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 alabiseeko eri Obuganda akawungeezi kano.

Omutanda atuuse ku Hotel Africana okuggalawo ttabameruka abakyala mu Buganda.

Ssabasajja agaddewo ttabamiruka wabakyala mubwakakabaka bwabuganda owomwaka guno wakati mu kwetegekera olunaku lwabakyala mubwakabaka bwa Buganda olunabaawo nga 13 May.

Ssabasajja asoose kusiima banamawuliire olwomulimu omulungi gwebakoze okwanika embeera eyokutulugunya abakyala mu gwanga.

Omutanda abasabye abobuyinza batekewo okunonyereza okwamangu era abwkatibwa nga benyigira mu bikolwa ebityoboola abakyala bavunanibwenga.

Beene era akubirizza abantu mu gwanga okufaayo ku bulamu bwabwe naddala bakyala, okwekebezanga nokwejanjaba ebirwadde ebitali bimu.

Ttabamiruka ono abubijidde ku hotel Africana nga yetabiddwamu abakulembeze babakyala mu Buganda okuva mumasaza ga Buganda gona.

Ttabamiruka ono avugidde ku mubala ogugamba nti Okussa ekitiibwa mubakyala gwemusingi gwenkulakulana.

Yye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza abakayala bonna abali mu buwereza mu bwakabaka bwa Buganda okuwerezza nga tebebaliira.

Ategezeza nti obukozi kyekimu ku  bitunulirwa okwongera ku muwendo gwabakyala mu bifo byobukulembeze.