Amawulire

Omutabani asse kitaawe nga bakayanira omukazi

Omutabani asse kitaawe nga bakayanira omukazi

Ivan Ssenabulya

December 27th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Mu disitulikiti ye Namutumba, omutabani yakakanye ku kitaawe namufumita ebiso namutta mu nkyana zomukwano ne muka kitaawe.

Kigambibwa nti abatuuze basanze omutabani mu nsiko ne muka kitaawe, nebayita taata enkayana wezatandikidde.

Bino byabaddewo ku lunnaku lwa ssekukulu, ku kyalo Namatooke mu gombolola ye Nangonde e Namutumba.

Omuwandiisi ku bukulembeze bwekyalo Musa Makajja agambye nti taata abadde nabakazi 5, wabula mutabani we yagwa mu mukwano noomu, ekyavuddeko embeteza.

Oluvanyuma, omutabani yakutte akamebe nalumba kitaawe namufumita mu lubuto, oluvanyuma ekyamuviriddeko okufa.