Amawulire

Omusuubuzi afera bankuba kyeyo gamumyukidde mu kaguli

Omusuubuzi afera bankuba kyeyo gamumyukidde mu kaguli

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah, 

Omusuubuzi ow’emyaka 34 agambibwa okuba nti abadde akukusa abantu nga yeefudde abatwala ebweru okukola agguddwaako omusango n’asindikibwa ku limanda.

Robert Kasibante omutuuze w’e Bunamwaya mu divizoni y’e Rubaga asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road n’awakanya ebimwogerwako

Kasibante alwanagana n’omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju.

Oludda oluwaabi lugamba nti wakati w’omwezi gwa November 2021 ne January 2022 ku Parliamentary Avenue mu Kampala n’ekigendererwa eky’okufera yafuna obukadde bwa siringi 9 okuva ewa Stella Kironde, nga yeefudde yali atwala muwala we Nakkungu Anne mu America okukuba ekyeyo

Ono agenda kudda mu kkooti nga July 20th 2022 okwongera okuwulira omusango guno.