Amawulire

Omusumba Jjumba atenderezza Ssekandi

Omusumba Jjumba atenderezza Ssekandi

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Omusumba w’eSsaza lye Masaka Serverus Jjumba alabudde abakulembeze, bonna abeesomye okukwata ku ttaka lya Klezia obutetantala.

Omusumba Jjumba asinzidde mu kusaba missa mu kukuza olunaku lwa Yezu Kabaka, essaza kwerijagulizza n’olunaku lwessaza emikolo egibadde ku Sports Arena e Kitovu.

Omusumba asinzidde wano era neyebaza eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, eyali Omubaka wa Bukoto Central Edward Kiwanuka Ssekandi olwokubeera omukulembeze awereza abantu be newankubadde mu kasirise.

Ekitambiro kino, kyetabiddwamu akulembera ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu ngono yeebazizza klezia okuyimiriranga ku mazima newankubadde waliwo okusomozebwa.

Ebikonge, abalala abetabye mu kusaba kuno kubaddeko akulira oludda oluvuganya gavumenti, omubaka wa Nyendo-Mukungwe Mathias Mpuuga.