Amawulire

Omusumba akwatiddwa lwakunyaga bantu

Ali Mivule

March 24th, 2014

No comments

Poliisi e Mukono ekutte omusumba w’abalokole agambibwa okunyaga endiga ze.

Omusumba Yasini Tarwemwa Mbuya  nga nga bamuyita mutume kuva mu kkanisa ya Deliverance  Power Centre International  Church akwatiddwa olwaleero nga kigambibwa nti alina abantu beyasubiza emirimu kyokka n’atagibawa

Omu ku bamulumiriza ategerekeseeko lya Rose ng’agamba nti yawaayo emitwalo 2 nga bamusuubizza okufuna emitwalo 30 buli omu

Ono nno baludde nga bamujjukiza ekisuubizo naye nga tewaliiwo kibaawo

Akulira poliisi enonyereza ku buzzi bw’emisango, Henry Mugumya agamba nti omusumba yoomu avunaanibwa omusango gw’okusobya ku mwana kale nga bwebafunye kwemulugunya bakutte mukwate