Amawulire

Omusujja gw’ensiri gukyali mungi mu uganda.

Ivan Ssenabulya

November 28th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

 

Tutegeezedwa nga Uganda bweri mu kifo ekyokuna  mu mawanga agasingamu omusujja gw’ensiri.

Bwabadde atongoza omukago wakati wa Rotary  ne ministry y’ebyobulamu  nga guno gwakubunyisa obutimba bwansiri mu Kampala ne Wakiso, akulira entekateka y’okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu ministry  eno Dr Jimmy Opio agambye nti abantu obukadde 18 bebafuna omusujja guno buli mwaka mu Uganda .

Amawanga amalala kuliko Nigeria ne Congo, nga gano gegamu ku gasingamu omusujja gw’ensiri.

Ono asabye abasawo okwongera okusomesa abantu kungeri n’obukulu bwokulwanyisa omusujja gwensiri.