Amawulire
Omusomesa asse mukazi we n’omwana
Poliisi mu disitulikiti ye Lwengo etandise okunonyereza kungeri omusomesa, gyeyaseemu mukazi we omulambo nagusuula mu kabuyonjo.
George William Tugume, omusomesa ku Kaboyo COU P/S, kigambibwa nti yasse Rose Katushabe, ngolwamaze yasse nomwana waabwe owemyaka 2 ku nsonga ezitanaba kutegerekeka.
Ettemu lino lyabadde mu Mbirizi Industrial area, ngokutegeera kyadirirdde balirwana okuwulira ekivundu ekyabadde kiva mu maka gano.
Wabula poliisi egamba nti okunonyereza okusooka, kulaga nti abafumbo bano babadde nobutakaanya okumala ebbanga.
Akulira ebyenjigiriza e Lwengo Doreen Ankunda, agambye nti bagenzaako nokubatabaganya naye nebirema.
Poliisi etegezezza ngokunonyereza bwekutandise.