Amawulire

Omusirikale wa UPDF asibiddwa emyaka 30 lwakutta muntu

Omusirikale wa UPDF asibiddwa emyaka 30 lwakutta muntu

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Eggye ly’eggwanga li UPDF liriko omusiirkale waalyo gwelisindise mu nkomyo okumalira ddala emyaka 30 bwasingisiddwa omusango gw’okutta munne bwebafunya obutakkanya nga bali mu kirabo ky’omwenge.

Alabert Ayanu 41 nga abadde akola ne battalion eya 33 mu bitundu by’e Ntungamo yasingisiddwa omusango Court y’ekibinja eky’okubiri eky’amagye etude mu Rubaare Town Council.

Col Rogers Ndikusooka Kitwala Sentebe wa Court y’amagye ey’ekibinja eky’okubiri alagidde Enyau akaligibwe emyaka 20 olwokutta Benerd Namanya ate emilala e 10 lwakutugumbula nanyini kirabo kyamwenge Eric Kadugara.

Bino ybonna byaliwo nga 25 Dec 2022 mu Kabuga k’e Mutojo Trading Centre.