Amawulire

Omusirikale wa Poliisi Ivan Wabwiire agambibwa okukuba omuyindi amasasi asindikiddwa ku alimanda

Omusirikale wa Poliisi Ivan Wabwiire agambibwa okukuba omuyindi amasasi asindikiddwa ku alimanda

Ivan Ssenabulya

May 17th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah. Omusirikale wa Poliisi Ivan Wabwire, agambibwa okutta omusuubuzi Uttaw Bandhari oluvanyuma lw’okumukuba amasasi agamuttirawo ku offisi ye esangibwa ku Parliamentary Avenue wano mu Kampala, Kooti emusindise ku alimanda mu komera e Luzir aokutuusa nga 7/06 omwaka guno.

Ono asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Sarah Tusiime Byabashaija ku luguudo Buganda mu Kampala amusomedde omusango gw’omutebu n’oluvanyuma namusindika ku mere.

On amutegeezezza ng’omusango ogumuvunaanibwa bweguwulirwa Kooti Enkulu yokka era yenna gwegusse mu vvi asindikibwa kalabba era nga nokusaba okweyimilirwa kukolerwa mu Kooti enkulu yokka.

Oluuyi oluwaabi lukulembeddwamu Omuwaabi wa Gavumenti Joan Keko nga yambibwako Ivan Kyazze bano nga bategeezezza Kooti ng’okunoonyereza bwekunatera okujjibwako engalo.

Bino byonna byaliwo ku lw’okutaano lwa 12/05 ku Raja Chambers.

Ono kati wakukomezebwawo eri Court nga 07/06 okumanya wwa okunoonyereza ku musango gwe wekutuuse.