Amawulire

Omusirikale bamusse bwabadde ataasa abasamize

Omusirikale bamusse bwabadde ataasa abasamize

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omusirikale wa poliisi mu disitulikiti ye Kamuli, atiddwa ebbiina lyabatuuze bwabadde agezaako okutaasa abasawo bekinnansi bebabadde bagenda okumiza omusu.

Omugenzi ye Francis Kasolo, ngabadde mbega wa poliisi okuva mu kitongole ekinonyereza.

Ettemu lino libadde ku kyalo Kadungu mu gombolola ye Namasagali e Kamuli.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North Michael Kasadha agambye nti abatuuze baavudde mu mbeera nebagala kutta abantu 2 abagambibwa okubeera abasawo bekinnansi, babadde babalumiriza okuleeta ebyokoola ku kyalo, ebibamazeeko emirembe.

Kasadha agambye nti baseeko omuntu omu, wabula omusirkale mu kugezaako okutaasa owokubiri abatuuze yye gwebasseemu.

Emirambo gitwaliddwa mu gwanika lyeddwaliro ekkulu e Kamuli gikyekebejjebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *