Amawulire

Omusirikale bamuletedde ebbaluwa n’essasi mu baasa

Omusirikale bamuletedde ebbaluwa n’essasi mu baasa

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2021

No comments

Poliisi e Jinja etandise okunonyereza ku kutisibwatisibwa okwakoleddwa ku eyali omusirikale wa poliisi Asuman Malinga.

Ono bamutusizaako ebaasa nga mulimu ebbaluwa emulabula, era bamutereddemu ekisosonkole kyemmundu ekika kya AK 47.

Bino webijidde ngbibaluwa ebiraliika obutemu bigenze bisulibwa mu bitundu byegwanga ebyenjawulo, byatandikira Masaka ngeno byagobererwa obutemu era abantu abali mu 30 bebatibwa.

Malinga, a mutuuze mu tawuni kanso ye Buyengo agambye nti ebbaluwa eno yamuwereddwa Aidah Nangobi naye yamuwereddwa okuva ku muntu atategerekese.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira James Mubi agambye nti bongedde ku byokwerinda eri omusirikale ono, era akaksizza nti okunonyereza kutandise.