Amawulire

Omusirikale abuze n’emmundu y’ekkomera

Omusirikale abuze n’emmundu y’ekkomera

Ivan Ssenabulya

March 28th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Busia ebakanye nomuyiggo ku musirikale wekkomera eyabuzeewo nemmundu ya gavumenti.

Lubega Daniel abadde akuuma ku kkomera lye Masafu wabula yabuze ne mmundu kika kya Riffle namasasai gaamwo, amakumi 30.

James Mugwe omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Bukedi South agambye nti Alexander Mwesigye akulira ekkomera lino yeyaleese omusango ku poliisi.

Mugwe agambye nti omuyiggo gutandise ku musirikale ono atenga nokunonyereza kugenda mu maaso.