Amawulire

Omumbowa w’omusinga ow’okutaano afiridde mu kkomera

Omumbowa w’omusinga ow’okutaano afiridde mu kkomera

Ivan Ssenabulya

July 24th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omumbowa mu Businga bwa Rwenzururu omulala afiridde mu kkomera, nga kati omugatte abambowa 5 bebakafa okuva mu November wa 2016.

Ssentebbe owakakaiiko akobwa Kattikiro mu Businga Bwa Rwenzururu, Gad Baluku agambye nti omugenzi ye Balinda Bazarwa ngabadde aweze emyaka 45, omutuuze ku kyalo Nyabuswa mu gombolola ye Karangura mu district ye Bunyangabu.

Kitegezeddwa nti ono afudde bwebabadde bamujja mu kkomera lye Kirinya okumutwala mu ddwaliro lye kkomera ekkulu e Luzira.

Kinajjukirwa nga 14 mu mwezi guno ogwomusanvu, omukuumi mu Businga eyali asingayo obukadde, mwabo 200 abasibwa yafiira mu ddwaliro lye kkomera e Luzira.

Abambowa bano baakwatibwa nga 27th mu Novemba wa 2016 amagye ne poliisi bwegalumba olubiri lwe Buhikira mu district ye Kasese, nga babalumiriza okwenyigira mu bikolwa byobutujju nobuyekera.

Abakwate wamu nomusinga Charles Wesley Mumbere balaindiridde omusango gwabwe gutandike mu kooti enkulu ewuliriza emisango egya naggomola.